Tuesday, September 2, 2008

KYABAZINGA`S JYENVUDDE WE...

KYABAZINGA aziikibwa ku Ssande e Kaliro awaaziikibwa kitaawe Ezekiel Wako eyafa mu 1982 ng’alina emyaka 109. Wano we waaziikibwa ne muka Kyabazinga, Alice Muloki mu 2005. Okuva lwe yafudde nga busaasaana ku Mmande, omulambo gwe gwakusigala Mulago okutuusa enkya ku Lwokusatu lwe gunaggyibwayo okutwalibwa mu palamenti. Okuva mu palamenti gujja kutwalibwa mu lubiri lw’e Nakabago gye gunaasula okutuusa enkeera ku Lwokuna gutwalibwe mu kisenge omutuula olukiiko lw’Obwakyabazinga n’oluvannyuma gutwalibwe mu lutikko e Bugembe enebeera okusaba. Oluvannyuma gujja kutwalibwa mu lubiri e Kaliro gye gunabeera era y’eneekolerwa emikolo gy’ebyobuwangwa gyonna okutuusa ku Ssande lw’anaaziikibwa e Kaliro. Bino byasaliddwawo mu lukiiko olwakubiriziddwa omumyuka wa sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga olwetabiddwamu bannaby-abufuzi n’abakungu mu Gavumenti ya Kyabazinga abaakulembeddwa Katuu-kiro William Kasango. Eggulo omulambo gwe gwaggyiddwa mu woodi 6C ne guzzibwa mu kifo awakuumirwa n’okukebera emirambo gukolweko n’okussibwamu eddagala. Yafudde bulwadde bwa kookolo w’emimiro. Minisita wa Busoga ow’Ebyamawulire Michael Kifubangabo, yategeezezza nti okulwawo okuziika kikoleddwa okusobozesa Abasoga abali ebweru w'eggwanga okujja okubaawo mu kumuwerekera. Olubiri lw’e Kaliro, Gavumenti yakamaliriza okuluyoyoota n’etwalayo amazzi n’amasannyalaze. Minisita w’ebyamawulire Kirunda Kivejinja yategeezezza nti Gavumenti y’ejja okukola ku nteekateeka zonna ez’okuziika era eggwanga lijja kutegeezebwa enteekateeka zonna. Minisita Lukia Nakadama yagambye nti :Ye muntu akumyekumye Busoga n’agatta buli muntu,alafubanidde nnyo emirembe mu ggwanga lye n’enkulaakulana mu Basoga. Amyuka Katuukiro Kasango: tuli mu kulumwa kw’amaanyi kubanga Kyabazinga abadde n’obukulembeze obulungi obutasangikasangika ate nga muntu wa nkulaakulana. Dr.James Batwala eyaliko omumyuka wa Katuukiro:Abadde mpagi luwagga mu bwa Kyabazinga,gubadde mulandira ffenna kwetuggya amazzi era nga ye Kyabazinga agatta abantu ffenna. Kivejinja Abadde musajja akozesa obulungi obuyinza bwe, nga teyeenyigira mu ntalo ate nga tayawulayawula mu bantu. Abdu Katuntu (FDC Bugweri): Y’omu ku bafuzi ab’ensikirano ababadde abayigirize ennyo era akozesezza bulungi obuyigirize bwe okuwanirira omumuli gw’obugunjufu mu Busoga. Rebecca Kadaga (Sipiika): Kitalo nnyo, Busoga ne Uganda okutwaliza awamu tufiiriddwa nnyo. Kyabazinga abadde ayagala nnyo abantu ate nga wa kisa. Charles Peter Mayiga (Omwogezi wa Mmengo): Kye ng’enda okulwawo nga nzijukira ku Kyabazinga bwe bukka-kkamu n’engeri ey’obwegendereza gy’akwatamu ensonga. Sam Kalega Njuba (FDC Kyaddondo East): Mujjukira nnyo mu myaka gy’ensanvu ng’akulira essomero lya Soroti Flying School era obuweereza bwe bwali bulungi nnyo. Daudi Migereko (Minisita w’amasannyalaze): Muggo munene ogukubiddwea Busoga ne Uganda yonna okutwalira awamu. Nsaba abantu babeere bakkakkamu mu kaseera kano ak’ennaku. Beatrice Wabudeya (Minisita ku nsonga z’Obwapulezidenti): Twebaza Katonda olw’obulamu bwa Kyabazinga n’emirimu gy’amusobozesezza okukola. Omubaka James Kubeketerya (Bunya East): Omugenzi yayamba nnyo okugemesa abantu naddala obulwadde bwa mulalama. Polof. Ogenga Latigo (FDC): Kyabazinga okufa kinakuwaza nnyo. Minisita Isac Musumba: Abasoga tufiriddwa nnyo.